Ab’ekkomera e Kitalya Beekokkodde Omujjuzo Gw’abasibe

Bya Tony Evans Ngabo Abatwala ekkomera lya gavumenti erya Kitalya Mini Max Prison beekokkodde omujjuzo gw’abasibe abali mu kkomera lino ogwongera okulinnya buli lukya. Bano bagamba nti wadde ekkomera lino lirina okubeeramu abasibe 2000, we twogerera ng’abaliyo bakunukkiriza kuwera 3000, ekibaleka mu kusomooza okwamaanyi. Bino abatwala ekkomera ly’e Kitalya babitegeezezza bammemba b’akakiiko k’eddembe ly’obuntu aka […]