Bp. Kagodo akoze enkyukakyuka mu Basumba e Mukono

Omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo yalangiridde enkyukakyuka mu basumba n’abaweereza abalala ab’ekkanisa mu bulabirizi bw’e Mukono. Enkyukakyuka zino omulabirizi yazirangiriridde mu kkanso y’obulabirizi ey’omulundi ogw’e 63 eyatudde mu Bp. Ssebaggala Synod Hall ku Lwokuna. Eno ye kkanso ya Bp. Kagodo ey’okubiri gy’akubirizza bukyanga atuuzibwa ng’omulabirizi w’e Mukono ow’okutaano nga 25/2/2023 ng’ono yasikira Bp. James […]