Ssaabalabirizi Kazimba Ajaguzza Emyaka 40 mu Bufumbo Obutukuvu

Bya Wilberforce Kawere Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu ne mukyalawe Margret Naggayi bajaguzza emyaka 40 bwe ddu bukyanga bagattibwa mu bufumbo obutukuvu. Bano beewuunyisizza abagenyi abaakungaanye okubajagulizaako olw’ekkula lino bwe baabagaanye okubawa ebirabo byonna ebikalu ebigenda eri bbo ng’abantu. Bakazimba baasazeewo nti ebirabo byonna Abakulisitaayo n’abantu abalala ababaagaliza ebirungi bye bandibawadde […]