Omwami W’essaza Kaggo Alabudde Abazadde Okufaayo ennyo ku Baana

Bya Tonny Evans Ngabo Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaddondo, Kaggo Ssalongo Matovu Ahmed Magandaazi alabudde abazadde ku nkuza y’abaana gy’agamba nti y’ensibo y’ebizubu ebifumbekedde mu ggwanga. Kaggo okwogera bino yasinzidde Kirinya mu ggombolola ya Ssaabaddu-Kira bwe yabadde akulembeddemu emikolo gy’okutuuza omwami w’omuluka gwa Ssaaabagabo-Kirinya, Ssalongo David Ssekalega Ziriddamu n’asaba abazadde okukozesa ekiseera ky’oluwummula […]