Besigye Ateekateeka Kukola Kibiina Kyabyabufuzi Kipya

Eyaliko Ssenkaggale wa FDC, Rtd. Col. Dr. Kiiza Besigye ng’ali wamu n’ekiwayi ky’ekibiina kino eky’e Katonga ali mu nteekateeka ya kutandika kibiina kya byabufuzi kipya oluvannyuma lw’abakulembeze abali e Najjanjankumbi okubasenza oluti ng’ekikere. Besigye mu nteekateeka eno ali n’akola nga ssenkaggale wa FDC w’ekiwayi ky’e Katonga, Omuloodi Erias Lukwago, Amb. Wasswa Biriggwa n’abakulembeze abalala nga […]