Okwewala Cervical Cancer, Omuwala Omuto Eby’okwegatta Biveeko!

Bya Tonny Evans Ngabo Abawala abaakyali abato balabuddwa okwewala okutandika ebikolwa eby’okwegatta nga tebanneetuuka. Abakugu mu nsonga z’eby’obulamu bagamba nti kino kye kimu ku bivaako ekirwadde kya kkansa wa nnabaana (cervical cancer) akyasinze okutta abakyala mu Uganda. Dr. Frank Kalyango nga y’akulira eddwaliro lya Bulondo Health Centre III erisangibwa mu ggombolola y’e Mende mu disitulikiti […]