Kitalo! Omukiise mu Lukiiko lwa Buganda Dr. Donald Muguluma Afudde!!!

Bannakyaggwe baguddemu ekikangabwa oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’abadde omukiise w’essaza ly’e Kyaggwe mu lukiiko lwa Buganda, Dr. Donald Ddamilira Muguluma.  Dr. Muguluma ng’abadde mutuuze mu kibuga ky’e Mukono ku kyalo Nabuti okumpi n’essomero lya Seeta Junior School Mukono abadde musawo omutendeke ng’alina eddwaliro mu paaka e Mukono n’e Bweyogerere. Amawulire g’okufa kwa Dr. Muguluma gaafulumye […]

Ssekiboobo Atuuzizza Omwami wa Kabaka Ow’omuluka gw’e Mpoma

Omumyuka asooka owa Ssekiboobo David Kato Matovu atuuzizza n’okulayiza Omwami wa Kabaka ow’omuluka gw’e Mpoma II ogusangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono. Sylvia Kyowa Kyobe y’atuuziddwa wakati mu mukolo ogujjudde essanyu, emizira, engoma n’amazina nga bino bisaanikidde ebyalo okuli Mpoma n’e Kisowera. Omumyuka wa Ssekiboobo nga ye mwami wa Kabaka atwala essaza […]