Bya Tonny Evans Ngabo Ebitongole by’obwannakyewa (NGO) ebikakkalabiza emirimu mu disitulikiti y’e Wakiso birabuddwa okwewala okukozesa mu nkukutu ekituusa n’okuteeka eby’okwerinda by’eggwanga ku bunkenke. Okulabula kuno kukoleddwa akulira abakozi BA gavumenti mu disitulikiti y’e Wakiso Alfred Malinga bw’abadde asisinkanyebab’ebitongole by’obwannakyewa eby’enjawulo ebikolera mu Wakiso ku ttabamiruka waabwe afundikira omwaka. Malinga agambye nti oluvannyuma lwa gavumenti […]
Bya Tony Evans Ngabo Ssaabasumba w’essaza lya Klezia ekkulu erya Kampala, Paul Ssemwogerere ayanukudde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe yavuddeyo n’agamba nti eggwanga bwe linaaba lyakulinnya ku nfeete ekirwadde kya Siriimu (HIV/AIDS) abazadde tebasaanidde kusasula bisale mu masomero. Museveni ng’asinziira mu disitulikiti y’e Rakai eggwanga gye lyakulizza olunaku lwa Siriimu olw’ensi yonna ku Lwokutaano […]
Bya Tony Evans Ngabo Embeera ku ssomero lya Kasanje Church of Uganda Primary School mu Kasanje ttawuni kkanso mu disitulikiti y’e Waakiso yeeralikirizza abatwala eby’enjiriza wamu n’abakulembeze ba disitulikiti eno. Bano bagamba nti ebizimbe ebisinga abayizi mwe basomera bikutte mu mbinabina, ebimu bikadde nnyo ng’ate bitonya ekitagambika nga mu kiseera kino abamu ku bayizi basomera […]
Bya Tonny Evans Ngabo Omuwendo gw’amaka agakuumirwamu abaana abatalina mwasirizi agakolera mu bumenyi bw’amateeka mu disitulikiti ez’enjawulo geeyongedde. Abakungu okuva mu minisitule y’ekikula ky’abantu bagamba nti kino kivuddeko abaana bangi okutuusibwako obulabe okuli n’abakukusibwa ne batwalibwa ebweru w’eggwanga ng’abantu abeefuula ababayamba bakozesa obunafu mu bitongole bya gavumenti eby’enjawulo. Okwogera bino, bano baaabadde mu disitulikiti y’e […]