Mukono General Hospital Teririna Bidduukirira Bagudde ku Bubenje

Eddwaliro lya Mukono General Hospital lyekubidde enduulu eri gavumenti n’abazirakisa okulikwasizaako okwongera okutereeza empeereza naddala bwe gutuuka ku ky’abantu abagwa ku bubanje. Akulira enzirukanya y’emirimu mu ddwaliro lino, Moses Bwogi yategeezezza nti eddwaliro mu kiseera kino teririna waadi ya bagudde ku bubenje nga beeyambisa kifo ewatuukirwa abalwadde abava ewaka ekimanyiddwa nga OPD ekikosa empeereza y’emirimu […]