Aba Bodaboda Beekokkola Obubbi Bwa Pikipiki Obucaase

Bya Abu Batuusa Obubbi bwa pikipiki obutwaliramu okutta abazivuga obusaasaanidde ebitundu bya Kampala eby’enjawulo n’ebirinaanyeewo bwewanisizza abavuzi ba bodaboda emitima. Bano bagamba nti bangi ku bannaabwe battiddwa ne pikiki zaabwe ne zobbibwa ng’ab’omukisa baakubibwa ne babalekako kikuba mukono nga mu kiseera kino banyiga biwundu. Mu bimu ku bitundu ebikyasinze okubeeramu obubbi bwa bodaboda ye munisipaali […]

Abakulembeze b’e Nansana Batongozza Bulungibwansi mwe Bagenda Okuyita Okweyonja

Bya Abu Batuusa Abakulembezze ba Nansana Division nga bakulembedwamu Mmeeya Ssaalongo Joseph Matovu ne bakkansala okuva ku mitendera egy’enjawulo baakoze bulungibwansi mu bitundu okuli Lugoba, Kazo n’ebitundu ebirala ebirinanyeewo mwe baayise okulongoosa ebifo by’olukale omuli obutale. Mmeeya Matovu yasinzidde wano n’asaba abantu okwenyigira mu kukola bulungibwansi naddala mu kiseera kino ng’Obwakabaka bwa Buganda bweteekerateekera okukuza […]

Omukazi Afumise Bba Ekiso N’amutta Lwa Kulwa Mu Kibanda Ng’alaba Mupiira

Bya Abu Batuusa Ekikangabwa kibuutikikidde abatuuze ku Yesu Amala mu munisipaali y’e Nansana, mu disitulikiti y’e Wakiso abaagalana bwe bafunye obutakkaanya okukkakkana ng’omukazi afumise bba ekiso mu lubuto n’afa. Abatuuze bategeezezza ng’omukazi ono kaggw’ensonyi ategeerekeseeko erya Ruth bw’afunye embavu oluvannyuma lw’okutta bba n’amusibira mu nnyumba olwo ye ebigere ne bimweyimirira. Bano bagamba nti guno si […]

Abasomesa Abatalina Ddiguli Ssaawa Yonna Akalimu Kaggwawo-Muddeeyo Mangu Musome

Bya Tonny Evans Ngabo  Abasomesa abatannafuna buyigirize butuuka ku ddiguli baweereddwa amagezi okuddayo amangu basome ng’embeera tennaboonoonekera. Godfrey Kiyingi Kinobe, atwala eby’enjigiriza mu disitulikiti y’e Wakiso agamba nti ssaawa yonna gavumenti egenda kuteeka mu nkola etteeka ly’abasomesa eriragira buli musomesa okubeera n’obuyigirize obwa ddiguli nga kino bwe kinaakolebwa bangi emirimu gyakuggwawo. Kinobe bino yabyogeredde ku […]

Poliisi Ekutte Bana ku By’okumenya Klezia ne Babba N’okwonoona Ebintu

Bya Tonny Evans Ngabo Abakristu mu kigo kya Our Lady of Assumption e Mwereerwe, ekisangibwa mu divizoni y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso  baguddemu encukwe bwe bakedde ku makya ne basanga nga klezia yaabwe ababbi baagimenye ne babba ebintu eby’enjawulo n’okwonoona ebintu ebiweredde ddala.  Okusinziira ku Bwanamukulu w’ekigo kino, Fr. James […]