Ab’e Mpologoma Balumirizza Buganda Land Board Okulemeza Gen Kayanja ku Ttaka Ly’Ekika!

Bya Lilian Nalubega Mengo ezzeemu okuyungula abakungu baayo okuddayo ku butaka bw’ekika ky’e Mpologoma mu kaweefube gw’eriko okutaawulula enkaayana eziriwo  ku ttaka ly’obutaka bw’ekika kino ne munnamagye eyawummula Gen. Elly Kayanja. Ttiimu yakulembeddwa  Minisita w’eby’obuwangwa, embiri, amasiro n’eby’okwerinda e Mmengo, Anthony Wamala, Ssaabawolereza wa Buganda  Christopher Bwanika, minisita w’olukiiko, kabineeti, abagenyi ne w’ofiisi ya Katikkiro […]