Abasomesa Abatalina Ddiguli Ssaawa Yonna Akalimu Kaggwawo-Muddeeyo Mangu Musome

Bya Tonny Evans Ngabo  Abasomesa abatannafuna buyigirize butuuka ku ddiguli baweereddwa amagezi okuddayo amangu basome ng’embeera tennaboonoonekera. Godfrey Kiyingi Kinobe, atwala eby’enjigiriza mu disitulikiti y’e Wakiso agamba nti ssaawa yonna gavumenti egenda kuteeka mu nkola etteeka ly’abasomesa eriragira buli musomesa okubeera n’obuyigirize obwa ddiguli nga kino bwe kinaakolebwa bangi emirimu gyakuggwawo. Kinobe bino yabyogeredde ku […]

Okusenda Ebisaawe By’amasomero Kikosa Eby’emizanyo mu Ggwanga-Bwanika

Bya Tonny Evans Ngabo Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika alaze okutya nti wandibaawo ekkobaane ery’okutta eby’emizannyo mu ggwanga okuggwerawo ddala. Bwanika agamba nti mu mbeera ng’abantu beefunyiridde ku kusanyaawo ebisaawe by’amasomero ga gavumenti mu ggwanga nga bwe bazimbako zi akeedi, kiba kiteeka mu  katyabaga ebiseera by’eby’emizannyo by’eggwanga lino eby’omu maaso. “Ebitone […]

Gavumenti Eriwa Ng’ebisale By’amasomero Birinnya Ng’ebiri ku Masannyalaze-Bakulembeze e Wakiso Babuuza 

Bya Tony Evans Ngabo  Abakulembeze abali ku mutendera ogw’eby’obufuzi mu disitulikiti y’e Wakiso si basanyufu olw’engeri amasomero gye galinnyisizzaamu ebisale n’ebulayo wadde omukulu mu minisitule y’eby’enjigiriza oba mu gavumenti avaayo okukuba ku nsolobotto ab’amasomero abagufudde omugano okukanda abazadde ensimbi nga balinga ze baabateresa. Bano nga bakulembeddwamu omubaka wa palamenti omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso, Betty […]

Ssentebe Bwanika Yeeweredde Abazadde Abatasasulira Baana Bisale Bya Masomero

Bya Tony Evans Ngabo Oluvannyuma lw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB okufulumya ebyava mu bigezo bya S.4 wiki ewedde nga disitulikiti y’e Wakiso ereebezza disitulikiti endala, abakulu b’amasomero wamu n’abakulembeze bagamba ekyo kikyali kituuza, mubalinde ne mu bya S.6 n’omwaka ogujja.  Bano bagamba nti bagenda kwongera amaanyi mu masomero n’agabadde gakyali wansi mu […]

Ssentebe Bwanika Acoomedde Abatwala Eby’obulamu e Wakiso

Bya Tony Evans Ngabo Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika acoomedde abakulira eby’obulamu mu disitulikiti eno olw’okulagajjalira ensonga z’eby’obulamu nga bano ebiseera ebisinga babimalira mu zi ‘workshop’ okusinga okukola emirimu egya baweebwa. Bwanika ategeezezza nti abasawo naddala  abali mu bifo eby’enkizo obudde obusinga babumala mu kulya bikyepere mu zi wooteeri ze babeeramu […]

Ssaabasumba Ayambalidde Abazadde N’abasomesa Abaganza Abaana Abato

Bya Tony Evans Ngabo  Ssaabasumba w’essaza lya Klezia ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere ayambalidde abazadde abaami n’abasomesa abeegbulidde okukkira abaana abato ne babasobyako. Ssaabasumba agambye nti ekikolwa kino kiswaza nnyo ssi eri abokka abakikola ne ffamire zaabwe wabula n’eggwanga lyonna. Ssaabasumba okukangula ku ddoboozi abadde akulembeddemu ekitambiro ky’emmisa ey’okukuza olunaku lw’Omutukuvu Yowaana Maria Muzeeyi wamu […]