Aba NRM e Busiro Basabye Minisita Kyofa Okwesimbawo Asiguukulule Sseggona

Abakulembeze ba NRM mu kkonsituwensi ya Busiro East mu disitulikiti y’e Wakiso basabye Minisita omubeezi owa Kampala n’emiriraano, Kyofatogabye Kabuye amanyiddwa ennyo nga Kyofa okubataasa ku munnakibiina kya NUP, Medard Lubega Sseggona Akalyamaggwa, amwesimbeko mu 2026 bbo bamuyiire obululu agende mu palamenti abakiikirire. Bano okusaba kuno baakukoze mu nisisinkano gye baabaddemu ng’abakulembeze ba NRM ku […]

Gavumenti Ewadde Abatuuze ku Kizinga Ky’e Bussi Amasannyalaze

Bya Tonny Evans Ngabo  Ssentebe wa district ye wakiso Dr. Matia Lwanga Bwanika ssi musanyufu olw’abakulu mu gavumenti naddala minisitule y’eby’entambula mu ggwanga olw’okulemererwa okukola ku nsonga eziruma abantu mu bizinga by’e Bussi mu disitulikiti y’e Wakiso ekireetedde n’abakozi ba gavumenti be basindika mu bizinga okugaana okukolera e Bussi nga kigootanyizza nnyo obuweereza bw’emirimu mu […]

Ssebwana Yennyamidde Olw’omuwendo gw’Abawala Abangi Abaddukira mu Bawalabu Okukuba Ebyeyo

Bya Tony Evans Ngabo Ng’abazadde mu ggwanga lyonna bali mu keetereekerero ak’okuzza abaana mu masomero agagenda okuggulawo mu butongole olunaku lw’enkya ku Mmande, Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Busiro, Ssebwana Ying. Charles Kiberu Kisiriiza akangudde ku ddoboozi eri abazadde abatayagala kutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe obw’okuweerera abaana be bazaala. Ssebwana okusinga anokoddeyo abazadde abawangaalira mu bizinga […]

Obuteesiga Gavumenti Buleetedde Pulogulaamu Y’okufukirira ebirime Okuzingama-Dr. Matia Bwanika

Bya Tony Evans Ngabo Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Bwanika alaze okunyolwa ng’agamba nti bangi ku Bannayuganda tebaakyesiga pulogulaamu za gavumenti ekiviiriddeko ezimu ku pulogulaamu okukonziba ng’abantu balinga abaazizira. Ssentebe Bwanika anokoddeyo enteekateeka ya gavumenti mw’eyita okuwa abantu ebyuma ebyeyambisibwa mu kufukirira ebirime emaanyiddwaa nga ‘micro irrigation scheme’ ng’eno mu kiseera kino tennatambula […]

NEMA Evicts Encroachers from Lubigi Wetland

The National Environment Management Authority (NEMA) has started evicting encroachers on Lubigi swamp in Wakiso district. On Tuesday, a joint task force comprising officials from the Police Environment Protection Unit, National Environment Management Authority, and KCCA among other agencies started destroying all structures and plantations in the wetland. Bulldozers demolished kiosks, eateries, taxi stages, and […]

Ebitongole By’obwannakyewa (NGO) Birabuddwa ku Kukolera mu Nkukutu

Bya Tonny Evans Ngabo Ebitongole by’obwannakyewa (NGO) ebikakkalabiza emirimu mu disitulikiti y’e Wakiso birabuddwa okwewala okukozesa mu nkukutu ekituusa n’okuteeka eby’okwerinda by’eggwanga ku bunkenke.  Okulabula kuno kukoleddwa akulira abakozi BA gavumenti mu disitulikiti y’e Wakiso  Alfred Malinga bw’abadde asisinkanyebab’ebitongole by’obwannakyewa eby’enjawulo ebikolera mu Wakiso ku ttabamiruka waabwe afundikira omwaka. Malinga agambye nti oluvannyuma lwa gavumenti […]

Ab’abaana abakulu mu mizigo eby’okwegatta mu lumummula mu byesonyiwe-poliisi

Bya Tonny Evans Ngabo Ng’abaana kye baggye bawummule okuva ku masomero ne badda ewaka mu luwummula luno olunene, poliisi evuddeyo n’erabula abazadde abalina abaana abakulu naye nga bali mu mizigo okugira nga bavudde ku by’okwegatta mu kifo ky’okubakabawaza. Omukwanaganya wa poliisi n’omuntu wa bulijjo  ku Kasanje Police Station Ambrose Mugyenyi ategeezezza nti mu kiseera kino, […]

Embeera Y’essomero lya Kasanje C/U Yeeraliikiriza

Bya Tony Evans Ngabo Embeera  ku ssomero lya Kasanje Church of Uganda Primary School mu Kasanje ttawuni kkanso mu disitulikiti y’e Waakiso yeeralikirizza abatwala eby’enjiriza wamu n’abakulembeze ba disitulikiti eno. Bano bagamba nti ebizimbe ebisinga abayizi mwe basomera bikutte mu mbinabina, ebimu bikadde nnyo ng’ate bitonya ekitagambika nga mu kiseera kino abamu ku bayizi basomera […]

Amaka Agakuuma Abaana Abatalina Mwasirizi Gaweereddwa Nsalessale

Bya Tonny Evans Ngabo Omuwendo gw’amaka  agakuumirwamu  abaana  abatalina mwasirizi agakolera mu bumenyi  bw’amateeka mu disitulikiti ez’enjawulo geeyongedde. Abakungu okuva mu minisitule y’ekikula ky’abantu bagamba nti kino kivuddeko abaana bangi okutuusibwako obulabe okuli n’abakukusibwa ne batwalibwa ebweru w’eggwanga ng’abantu abeefuula ababayamba bakozesa obunafu mu bitongole bya gavumenti eby’enjawulo. Okwogera bino, bano baaabadde mu disitulikiti y’e […]