Ekika Ky’Endiga Kironze Lwomwa Omupya okudda mu Bigere Bya Ying. Daniel Bbosa

Eria Lwasi Buzaabo alondeddwa ku bwa Lwomwa, ng’ono ye mukulu w’Ekika ky’Endiga. Lwasi y’abadde Katikkiro wa Lwomwa omubuze Ying. Daniel Bbosa. Lwasi ayanjuddwa ewa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ng’oluvannyuma ono y’anaamwanjula ewa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda. Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Lwomwa omuggya okukumaakuma bazzukulu be, n’okukimanya nti Ssaabasajja Kabaka ye Ssaabataka. Katikkiro […]