Poliisi Ekutte Bana ku By’okumenya Klezia ne Babba N’okwonoona Ebintu

1 minute, 18 seconds Read

Bya Tonny Evans Ngabo

Abakristu mu kigo kya Our Lady of Assumption e Mwereerwe, ekisangibwa mu divizoni y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso  baguddemu encukwe bwe bakedde ku makya ne basanga nga klezia yaabwe ababbi baagimenye ne babba ebintu eby’enjawulo n’okwonoona ebintu ebiweredde ddala. 

Okusinziira ku Bwanamukulu w’ekigo kino, Fr. James Matovu, ababbi babbye n’okwonoona ebintu eby’omuwendo omuli ennanga emu, ampulifaaya bbiri, ‘microphone receiver’ emu, ‘microphone’ 4, ne bamenya akabookisi mwe batereka ensimbi za Radio Maria ne batwala ensimbi ezizze ziterekebwamu okumala omwaka mulamba, ne bamenya sseefu mwe batereka ssente z’amakungula ga kkulisimaasi n’ebirala bingi.

Global Junior School Ushers Kids into New Year in Style While Unveiling New Campus

Fr. Matovu agamba nti mu ngeri ey’ettima era ey’obujoozi, ababbi bano bakkakkanye ku byambalo bya baffaaza ne babisalaasala ne babireka awo.

“Ebikolwa by’ababbi bano bitwenyisizza nnyo emitima era tuli mu kiyongobero ekitagambika,” bwanamukulu bw’annyonnyodde.

 

Ebyabadde muno byabbiddwa.

Omwogezi wa poliisi mu ttundutundu lya Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango akakasizza obulumbaganyi buno n’ategeeza nti oluvannyuma lwa poliisi y’e Gombe okutemezebwako, yasitukiddemu ng’erina n’embwa enkozi z’olusu nga zino ziriko abavubuka bana be zikutte era bano baggaliddwa nga mu kiseera kino poliisi egenda mu maaso n’okunoonyereza.

Fr. Matovu akubirizza abavubuka okufuba okunoonya emirimu bakole basobole okufuna ssente ez’omukisa n’asaba n’abazadde okukuliza abaana baabwe mu mpisa nga babalabula okwenyigira mu bikolwa eby’obubbi, obutemu n’emize emirala.

NCDC Develops New ECD Curriculum Ready for Rollout Next Year

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *