Eyali Town Clerk ne Bamugoba N’asigala Ng’abba Abantu Bamunoonya

1 minute, 58 seconds Read

Olukiiko olutwala eby’okwerinda mu disitulikiti y’e Mukono kluli ku muyiggo gw’eyali omukozi wa gavumenti n’agobwa ku mulimu agambibwa okuba nti agufudde mugano okubba abantu mu lukujjukujju.

Henry Mayanja nga yali amyuka tawuni kiraaka w’e Katosi nga mu kiseera kino b’aggyako ssente mu lukujjukujju abategeeza nga bwali omumyuka w’akulira abakozi (CAO) mu disitulikiti y’e Mukono.

Mayanja mu kiseera kino kigambibwa nti aliira ku nsiko olw’akakiiko k’eby’okwerinda mu disitulikiti okumuyigga nga yeetaaga akwatibwe avunaanibwe mu kusooka okweyita ky’atali n’okuggya ku bantu ssente mu lukujjukujju.

Mike Segawa nga mumyuka wa RDC w’e Mukono agambye nti Mayanja azzenga atuuza ekiiko za ffamire ezirina obutakkanya mu by’obusika nga takoma okwo akulembera n’okugabanya ebintu.

Segawa agamba nti Mayanja okuwegyezebwa kyaddiridde abakulembeze ku kyalo Kitunku ekisangimbwa mu ggombolola y’e ye Kasawo  okwekubira enduulu gy’ali nga bamwekengera oluvanyuma lw’okutuuza ekiiko eziwerako mu kitundu kyabwe so nga abamu ku bbo bamumanyi nti yagobwa dda.

Ssentebe w’ekyalo kino Twaha Walusimbi mu lukiiko oluyitiddwa Segawa ku nsonga eno  asomye amabaluwa ag’enjawulo Mayanja g’azze awandiika ng’ayita ffamire okuzitabaganya wamu n’okugaba ebintu, era ng’ono embeera okwongera okumwonoonekera kyadiridde okuwandiika ebbaluwa ng’ayita ffamire y’omugenzi Yeremiya Ssenkubuge okuggya agabe ebintu aba ffamire bye baludde nga basikanganiramu omuguwa.

Walusimbi yagambye nti wakati ng’olukiiko lugenda mu maaso, n’oluvanyuma lwa Mayanja okwogera mu lukiiko lwa ffamire weewaviriddeyo omu n’amulumiriza okweyita CAO era wanno kwe kulinnya emmotoka n’amalamu omusubi era ebyaddiridde byamugudde nkoto.

Ye RDC Segawa yategezezza nga mu kiseera kino bwe banoonya Mayanja abeeko ne by’annyonnyola kuba by’akola biteeka eby’okwerinda by’ekitundu ku matigga.  Yayongeddeko nti talina buzibu n’aba ffamire kufuna bantu bonna babayambako kutabagana kuba nabo kye baagala naye ate omuntu akozesa wofiisi ya CAO kibeera kikyamu.

 Ku ky’amabaluwa Mayanja g’agambibwa okuwandiika nga waggulu galaga nti ye SAS ate nga wansi w’ebbaluwa gye zikoma ateekako omukono nga CAO mu kitundu kino waliwo ebiwandiiko bingi ebitambula ng’ebya gavumenti naye ate nga si kituufu. Ono yalagidde atwala eby’okwonoonyereza ku misango ku poliisi e Kasawo okukwatagana n’aba ffamire okumanya ani eyayingiza Mayanja mu nsonga zino.

Yasabye n’aba ffamire ate ebizibu bye balina obutabaviirako kwenyigira mu bumenyi bw’amateeka mu kitundu.  Yabawadde n’amagezi ensonga zaabwe baziyise mu bakulembeze b’ekyalo n’okweyogera waggulu ku mitendera egy’enjawulo.

Abamu ku baana n’abazukulu b’omugenzi baliko bye baalabululidde Segawa ku kunyigiriza kwe bakolebwako.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *