Abaana B’amasomero Beenyigidde mu Kuyonja Obutale e Gganda mu Wakiso

1 minute, 12 seconds Read

Bya Abu Batuusa

Abayizi b’amasomero nga bali wamu n’abakulembeze ssaako abatuuze b’e Gganda mu disitulikiti y’e Wakiso bakoze bulungi bwa nsi mwe bayise okulongoosa obutale obw’enjawulo.

Okulongoosa kuno baakukoze ku Lwokutaano ne beegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna.

Abamu ku bakyala abeetabye mu kulongoosa, baasabye gavument okulowooza ku ky’okukendeeza ku musolo ogubali mu bulago ku buli kintu ekigulibwa ne by’e batunda ekireetedde n’emiwendo gy’eby’amaguzi okulinnya waggulu.

 

Bano bagamba nti eby’embi, bbo ng’abakyala ennaku zino be baddukanya amaka sso ng’ate n’okufuna ssente ennaku zino kyafuuka kizibu kya maanyi.

Mu bulungi bwa nsi, bano baakulembedwamu Fred Kangave eyeesimbawo ku bubaka bwa palamenti mu kkonsituwensi y’e Busiro wamu n’abaana ab’amasomero era nga bano baasoose na kukola bikujjuko nga beetoloola ebyalo nga bakulembeddwamu bbandi nga balese bangi gye bayise nga basamaaliridde.

Abakyala abakolera mu katale ka Mukisa Market e Gganda be twogeddeko nabo bategeezezza nga bwe babaseera enyo emmere ng’ate be bamaama era bataata ekibakaluubiriza ennyo okutuukiriza obuvunaanyizibwa.

Abalala baasimye nyo omulimu gwe babakoledde ogw’okubalongooseza akatale kaabwe ate ye ssentebe w’akatale kano Samuel Bikajjumbe naye talutumiddwa mwana.

Abamu betwogeddeko nabo okuli Fred Kangave ne Emmanuel Ssengendo basiimye enteekateeka eno ne basaba ebeerenga terinda nnaku nkulu wabula nga bakungaana oluvannyuma lw’ebbanga eritali ddene ne beerongoosa nga bwe bakoze.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *