Akasattiro e Mmengo! Akulira Abajaasi Abakuuma Kabaka Adduse

1 minute, 45 seconds Read

Embeera ya bunkenke ku kitebe ekikulu eky’Obwakabaka bwa Buganda e Mmengo! Akasattiro kano kazzeewo oluvannyuma lw’okukizuula nti munnamagye Capt. Edward Ssempijja nnamba RO/13048, abadde akulira eby’okwerinda bya Kabaka yasuulawo dda omuli n’adduka nga ne bakamaabe tebamanyi.

Bino oluvannyuma lw’okubeerawo, omwogezi w’amagye ga UPDF, Brig. Gen. Felix Kulayigye ategeezezza nti Capt. Ssempijja nabo tebamnyi mayitire ge era nga bamunoonya.

Capt. Ssempijja abadde akulembera Kabaka Protection Unit (KPU) nga mu kiseera kino nga Kabaka tali mu ggwanga yagenda bweru gy’ali mu kujjanjabibwa, teri amanyi kiki kyavuddeko mmanduso okumuwaliriza okwegoba ku mulimu!

Kiteegerekese nti Capt. Christopher Lutwama nnamba RO/ 13174 abatwala eggye lya UPDF gwe baataddewo okugira ng’azze mu bigere bya Capt. Ssempijja.

Okusinziira ku lupapula lw’amawulire olwa Bukedde, Brig. Gen. Kulayigye yategeezezza nti Capt. Ssempijja yadduka ku mulimi nga tategeezezza ku bakamaabe ng’era mu kiseera kino atwalibwa nti ali AWOL (Away without Official Leave).

Kulayigye yagambye nti amagye galina emitendera gye yayitamu bwe gutuuka ku bajaasi ababa badduse ng’omutendera ogusooka babala ennaku 21 ezisooka, ssinga omujaasi oba ofiisa w’amagye ava ku mulimu nga bwe ziwera ennaku 30 nga talabikako, olwo asangulwa mu bitabo by’amagye mu butongole.

Capt. Ssempijja abadde akolera wansi wa Caol. James Kato Kalyabara ddayirekita w’ekibinja ekikuuma abakulembeze b’ennono mu ggye lya UPDF (Director Royal Guards) wabula ng’ono bwe yabuuziddwa ku nsonga ezino yajulizza mwogezi w’amagye Kulayigye n’agamba nti ensonga za Capt. Ssempijja zimususseeko.

Mmengo Etuukiriddwa

Bwe yatuukiriddwa, omwogezi w’Obwakabaka, Israel Kitooke yajulizza Minita avunaanyizibwa ku by’obuwangwa, embiri, amasiro, obulambuzi n’eby’okwerinda, Anthony Wamala kubanga amawulire agakwata ku bakuumi ba Kabaka gatuukira ku ye.

Wabula bwe yakubiddwa essimu, yawulirizza byonna mu kwanukula n’agamba nti yabadde mu ddwaliro ng’afuna bujjanjabi nga ne bwe kityo tasobola kwogera ku nsonga eyo mu budde obwo.

Capt. Ssempijja yateekebwa mu kifo kino omwaka oguwedde mu February 2023 nga yasikira Maj. Stanley Musaazi oluvannyuma lwa UPDF okumuzza ebbali anoonyerezebweko ku bigambibwa nti yeenyigira mu bikolwa ebitakkirizibwa mu magye.

*Bisimbuddwa mu lupapula lwa Bukedde*

The post Akasattiro e Mmengo! Akulira Abajaasi Abakuuma Kabaka Adduse appeared first on Kyaggwe TV.

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *