Bp. Ssenyimba Abadde wa Mugaso Nnyo Eri Obwakabaka Bwa Buganda-Kabaka

Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II yakungubagidde musajjawe, Omubalirizi w’e Mukono ow’okubiri eyawummula, Michael Solomon Ndawula Ssenyimba eyaseeredde. Kabaka mu bubakabwe bwe yatisse Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, yagambye nti Bp. Ssenyimba abadde mpagi sseddugge, ow’enkizo si mu buweereza bwa ddiini yokka oba mu kisaawe ky’eby’enjigiriza wabula ne mu kusitula ennono n’obuwangwa bwa […]

Ekika Ky’Endiga Kironze Lwomwa Omupya okudda mu Bigere Bya Ying. Daniel Bbosa

Eria Lwasi Buzaabo alondeddwa ku bwa Lwomwa, ng’ono ye mukulu w’Ekika ky’Endiga. Lwasi y’abadde Katikkiro wa Lwomwa omubuze Ying. Daniel Bbosa. Lwasi ayanjuddwa ewa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ng’oluvannyuma ono y’anaamwanjula ewa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda. Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Lwomwa omuggya okukumaakuma bazzukulu be, n’okukimanya nti Ssaabasajja Kabaka ye Ssaabataka. Katikkiro […]

Katikkiro Alungamizza ku Muti Gw’ebyafaayo Ogwagudde Ku Kyambogo University 

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga alungamizza ku muti gw’omuwafu  ogugambibwa okuba ogw’ebyafaayo ogubadde ku yunivasite y’e Kyambogo nga guno kibuyaga yagusudde. Katikkiro asabye Ssettendekero wa Kyambogo okusimba omuti omuggya gudde mu kifo ky’omgwo omukadde ogwagudde. Okusaba kuno Katikkiro akuyisizza mu kiwandiiko ky’awandiise ekiraga ebyafaayo by’omuti guno n’amakulu g’ekifo we gwasimbibwa. Mukuumaddamula agambye nti omuti […]

Essanyu Nga Mutabani wa Katikkiro Mayiga Agattibwa ne Mwana Munne

Eklezia mu Lutikko e Lubaga ewuumye nga Charles Bbaale Mayiga Junior, mutabani wa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yeewangulira obufumbo obutukuvu. Charles Bbaale Mayiga Junior agattiddwa mu bufumbo obutukuvu ne mwana munne, Sonia Elizabeth Nabagereka, ng’omusumba wa Klezia ow’essaza ly’e Masaka, Serverus Jjumba y’akuliddemu omukolo guno. Omukolo guno gusitudde ebikonge okuli Maama wa Buganda, […]