Bp. Ssenyimba Abadde wa Mugaso Nnyo Eri Obwakabaka Bwa Buganda-Kabaka

Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II yakungubagidde musajjawe, Omubalirizi w’e Mukono ow’okubiri eyawummula, Michael Solomon Ndawula Ssenyimba eyaseeredde. Kabaka mu bubakabwe bwe yatisse Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, yagambye nti Bp. Ssenyimba abadde mpagi sseddugge, ow’enkizo si mu buweereza bwa ddiini yokka oba mu kisaawe ky’eby’enjigiriza wabula ne mu kusitula ennono n’obuwangwa bwa […]

Kabaka Alambudde Omulimu Gw’okuzzaawo Amasiro G’e Kasubi

Kabaka wa Buganda, Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’alambula omulimu gw’okuzzaawo amasiro g’e Kasubi okulaba w’e gutuuse. Omuteregga asiimye ebikolebwa n’agamba nti omulimu guwa essuubi era guzzaamu amaanyi. Mu masiro  g’e Kasubi we wasangibwa ennyumba Muzibu-Azaala-Mpanga ng’eno Bassekabaka ba Buganda abana abasembayo mwe baaterekebwa. Amasiro gano abatamanyangamba baagateekera omuliro nga March 17, 2010 nga […]