Poliisi Esimbye Bataano mu Kkooti mu Gw’okutta Lwomwa

Poliisi emaririzza okunoonyereza mu musango gw’okutta eyali omukulu w’ekika ky’Endiga, Lwomwa Ying. Daniel Bbosa. Abantu bataano be bakwatiddwa nga bano poliisi ebatutte okubasimba mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Rubaga Magistrate’s Court e Mengo mu Kampala. Abavunaanibwa kuliko; Noah Luggya agambibwa okukuba Ying. Bbosa amasasi agaamutta, Harriet Nakiguli, Ezra Mayanja, Milly Naluwenda ng’ono muwandiisi mu kkooti […]

Aba NRM e Busiro Basabye Minisita Kyofa Okwesimbawo Asiguukulule Sseggona

Abakulembeze ba NRM mu kkonsituwensi ya Busiro East mu disitulikiti y’e Wakiso basabye Minisita omubeezi owa Kampala n’emiriraano, Kyofatogabye Kabuye amanyiddwa ennyo nga Kyofa okubataasa ku munnakibiina kya NUP, Medard Lubega Sseggona Akalyamaggwa, amwesimbeko mu 2026 bbo bamuyiire obululu agende mu palamenti abakiikirire. Bano okusaba kuno baakukoze mu nisisinkano gye baabaddemu ng’abakulembeze ba NRM ku […]

Abaana B’amasomero Beenyigidde mu Kuyonja Obutale e Gganda mu Wakiso

Bya Abu Batuusa Abayizi b’amasomero nga bali wamu n’abakulembeze ssaako abatuuze b’e Gganda mu disitulikiti y’e Wakiso bakoze bulungi bwa nsi mwe bayise okulongoosa obutale obw’enjawulo. Okulongoosa kuno baakukoze ku Lwokutaano ne beegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna. Abamu ku bakyala abeetabye mu kulongoosa, baasabye gavument okulowooza ku ky’okukendeeza ku musolo ogubali […]

Museveni Tuwe Abaami Baffe Naffe Tweyagalire mu Lunaku Lw’abakyala

Bya Abu Batuusa Abakyala mu kibiina ky’eby’obufuzi ekya National Unity Platform (NUP) bagaanye okwegatta ku mukolo emitongole egy’eggwanga egy’okukuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna. Bano bagamba nti kyandibadde kya bwewussa okwegatta ku bijaguzo bino nga bakyala bannaabwe ne gye buli eno bali mu makomera gye bavundira, n’abalala abali mu buwambwe abatamanyiddwako mayitire nga bwe gutyo bwe […]

Abakulisitaayo Basabiddwa Okutandikawo Ppulojekiti Ekkanisa Mw’eggyanga Ensimbi Ezigiyimirizaawo

Bya Abu Batuusa Omulimu gw’okusonda ensimbi ez’okuzimba ekizimbe ky’ebyobusuubuzi ku kkanisa ya St. Paul Kisimbiri gutandise na maanyi. Omukolo guno gwettaniddwa Abakulisitaayo ababaddewo mu bungi, ng’omulamwa gw’omukolo guno omukulu gubadde gwa kukuza lunaku lw’abavubuka ku kkanisa eno. Abagenyi omubadde n’ebikonge eby’amaanyi biwaddeyo ensimbi ez’okuwagira omulimu guno  nga ppulojekiti ewomeddwamu omutwe abavubuka emanyiddwa nga Ebenezer Project. Omulimu […]

Naggalama Secondary School e Mukono Lyeriisizza Nkuuli mu bya S.6

Essomero lya Naggalama Secondary School likubye budinda ebibuuzo bya S.6 ebifulumiziddwa olunaku lwa leero. Essomero lino erisangibwa ku kyalo Bunyiri mu ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono lifunye abayizi basatu abamazeeyo obubonero 20 sso ng’ate 10 bbo bafunye obubonero 19 ne balekayo kamu kokka. William Nyanja, omukulu w’essomero lino ayogedde ku buwanguzi bwe batuseeko n’ategeeza […]

Omukazi Afumise Bba Ekiso N’amutta Lwa Kulwa Mu Kibanda Ng’alaba Mupiira

Bya Abu Batuusa Ekikangabwa kibuutikikidde abatuuze ku Yesu Amala mu munisipaali y’e Nansana, mu disitulikiti y’e Wakiso abaagalana bwe bafunye obutakkaanya okukkakkana ng’omukazi afumise bba ekiso mu lubuto n’afa. Abatuuze bategeezezza ng’omukazi ono kaggw’ensonyi ategeerekeseeko erya Ruth bw’afunye embavu oluvannyuma lw’okutta bba n’amusibira mu nnyumba olwo ye ebigere ne bimweyimirira. Bano bagamba nti guno si […]

Omukulu W’essomero Bamusimbye mu Kkooti Lwa Kubba Mbaata

Nnaabakyala ku kyalo ky’e Nakanyonyi-Bengaazi ekisangibwa mu Nakifuma-Naggalama ttawuni kkanso mu disitulikiti y’e Mukono atunuulidde ebikalu mu kaguli ka kkooti, bwe bamusimbyemu ne bamuvunaana omusango gw’okubba embaata. Peninah Nabaweesi ng’ono era nannyini ssomero erimu mu kitundu kino nga muliiranwa we Yusufu  Mulumwe yamukaliramu n’amulumiriza nga bwe yabba embaata ze ezaali mu kumaamira. Nabaweesi olwa leero […]

Eyapanga Olukwe Lwokutta Omukulu W’ekika Ky’Endiga Poliisi Emutaayirizza mu Bizinga

Nga Poliisi erwana obwezinzingirire okulaba ng’ekwata buli muntu eyeenyigira mu lukwe olw’okutta abadde omukulu w’ekika ky’Endiga, Lwomwa Ying. Daniel Bbosa, kaweefube waayo ow’okunyweza omusajja gwe bagamba nti ye yaluka olukwe luno yasooka n’agwa butaka, ono bwe yabagwa mu buufu ne yeemulula ebigere n’abinnyika mu nsuwa ne yeetegula ekibabu oba oly’awo ekyosi kimale okuyita. Wabula ensonda […]

Abavuba Mukene ku Kizinga Ky’e Bussi Balaajana-Twolekedde Okufa Enjala

Bya Tonny Evans Ngabo Abavubi ba mukene abasoba mu 700 ku kizinga ky’e Kav’enyanja ku kyalo Kacanga mu ggombolola y’e Bussi mu disitulikiti y’e Wakiso boolekedde okutondoka nga bafa olw’enjala olw’okubulwa eky’okulya. Entabwe ava ku kiragiro kya minisita omubeezi ow’eby’obuvubi, Hellen Adoa okuwera enkola eyeeyambisibwa abavubi mu kuvuba mukene, emanyiddwa nga hariyaapu ng’agamba nti eno […]